Obufumbo busaana kuyingiramu n'oyo bwemwetegeera obulungi era nga mukwano gwo, bwe mubeera nga mumanyiganye bulungi obufumbo bubanguyira.
Nkulisa Keith Mugisha ne Karungi Kajura abagattiddwa empeta leero mu kkanisa y'Omutukuvu Stefano Kisugu, tubaagaliza obufumbo obulungi.
Njozaayoza ne Kenneth Wycliff Mugisha eyaliko Governor wa Rotary, azaala Keith olw'okutuuka ku kkula ly'okulaba omwana ng'akula era ng'atandika amaka.
Owek. Vincent Mayiga ne mukyala we Rosemary Bella Namutosi Mayiga ekijjulo ky'okujaguza emyaka 50 mu bufumbo, bakitugabulidde ku Nabisere Hotel e Kaliisizo.
Emyaka 50 mu bufumbo ssi kyangu olw'ebisoomooza eby'enjawulo ebibaawo, kale bannaffe bano tubeebaza obugumiikiriza n'obuvumu, era kirungi bajaguze.
Abavubuka bangi ensangi balemwa obufumbo lwa nsonga enkulu bbiri; obutiitizi, n'okwagala eby'amangu. Tewali kyangu mu bulamu kyokka abo abafunvubira okwaŋŋanga embeera, bamala ne bawangula, nga bwe tulaba abajaguza bano.
Oweek. Vincent Mayiga ne Rose Mayiga, kyakulabirako kirungi, eri ffenna era tubasabira Katonda ayongere okubakuuma.
Nkedde mu Ekeleziya y’Omutukuvu Andereya e Matale, Kaliisizo mu Buddu okwetaba mu mmisa y’ekijaguzo eky’emyaka 50 egy'obufumbo bw’eyaliko Omwami wa Ssaabasajja Kabaka ow’essaza Buddu Pookino Vincent Mayiga.
Ekisaawe ky'Essaza Buddu kijja kuyitibwanga “Kabaka Daudi Chwa II EACOP Stadium Buddu”, leero ntemye evvuunike ku ttaka ewagenda okuzimbibwa ekisaawe kino era mu butongole omulimu gutandise.
Kabaka Daudi Chwa II, ye Pulezidenti wa FUFA eyasooka mu Uganda mu 1924, ye yawaayo n'ettaka okuli ekitebe kya FUFA e Mmengo. Tusaanidde okumujjukiranga nadala kati nga muzzukulu we Kabaka Mutebi II aweza emyaka 33 ku Nnamulondo.
Ekimu ku bikonzibya eby’emizannyo mu Uganda bbula lya bisaawe, kirungi tutandise kati, era nneebaza Minisitule y’Obuggaga obw’omuttaka, EACOP, Oceans General Holdings Limited, ne kkampuni endala ze tukwataganye nazo ku mulimi guno.
#Amatikkira33
Enkya ya leero mu Bulange, nsisinkanye Abeekika kya Nnyonyi Nnyange nga bakulembeddwamu Omukulu w'Ekika, Omutaka Mbaziira Kakooto Frank Kisaala, mbategeezezza nti Kabaka yantuma gye bali ku nsonga y'okuzzaawo ekyoto bbungu mu Lubiri e Mmengo.
Banyanjulidde Olukiiko olwalondebwa okukola ku nsonga eno, era ndutongozza okulaba nti omulimu guno gugguka mu bwangu ddala olw'obukulu bwagwo mu nnono za Buganda.
Bbungukalyomu, kyoto ekikumibwa Abayange, era ku kyoto kino Kabaka kw'agabira entabaalo. Wewaawo tetukyalina ntabaalo za mafumu, naye era ku mulembe guno Kabaka atuma basajja be ku ntabaalo nnyingi okugeza; okugoba obwavu mu Buganda, okulwanyisa mukenenya, okutumbula ebyenjigiriza n'endala.
Kale omulimu guno mukulu nnyo era gunyweza ennono zaffe.