Emizannyo gy'Eggombolola mu Masaza ga Buganda zigenda kutongozebwa ku Lwomukaaga luno mu Ssaza Buweekula mu kisaawe e Kasana - Mubende.
Omwaka guno essira ligenda kuteekebwa ku mizannyo esatu; Omupiira ogw'ebigere, Okubaka, n'Omweso.
#GgombololaCup2026
Abaami b'eggombolola baluŋŋamizidwa ku nkola y'emirimu
Minisita wa Gavumenti ez'Ebitundu mu Buganda Owek. Joseph Kawuki asisinkanye abaami ba Kabaka mu masaza; Gomba, Busujju, Mawokota ne Butambala mu kwongera okubalambika ku nkola y'emirimu, enteekateeka eno ebadde ku mbuga y'Essaza Gomba.
Minisita Kawuki alaze nti mu nteekateeka ya gavumenti ez'ebitundu waliwo ekiruubirirwa ky'okwongera okukuza n'okunyweza obukulembeze okusobola okunnyikiza enkola y'emirimu wamu n'empeereza esinga naddala mu ggombolola ng'akikaatiriza nti abaami ab'eggombolola be basinga okutuuka obuteerevu ku bantu ba Kabaka kale nga okunyweza enkola ezo zonna kyetaagisa okuzukusa abaami abo.
Ebisingawo 👇
https://t.co/tbo7MvJYvl
Leero nkedde ku ssomero, Kids and Love Daycare and Kindergarten - Bwebajja, okwetaba ku mukolo abaana nga boolesa ebitone byabwe eby'enjawulo ng'essomero likomekkereza olusoma lw'omwaka guno.
Nga 8/10/1962, Omulangira wa Bungereza Edward (Duke of Kent), yajja mu Bulange n'asisinkana Ssekabaka Muteesa II okuddiza Buganda obwetwaze bwayo olwo ne Uganda eyawamu n'eweebwa obwetwaze enkeera nga 9.
Leero mu kujjukira emyaka 63, tukuzizza olunaku lwa Bulungibwansi ne Gavumenti ez'Ebitundu mu Buganda ku Mbuga y'Eggombolola Musaale Busukuma.
Abazungu okujja kuno baasanga Buganda erina obukulembeze obulambukufu nga enkola ng'eno eya Bulungibwansi zituukuumira wamu era nga twekulaakulanya. Okwolesebwa kwaffe okw'okuzza Buganda ku ntikko kwe kuzza ekitiibwa kya Buganda mwe yalabirwanga era Federo tukyagala na kati.
Leero tukuza olunaku lwa Gavumenti ez'Ebitundu mu Buganda nga tujjukira n'emyaka 63 nga Buganda eddiziddwa obwetwaze.
Katikkiro @Cpmayiga atongozza mayiro ya Bulungibwansi mu ggombolola ya Musaale Busukuma bw'atuuse okwetaba ku mukolo gw'okujaguza olunaku luno.
Tutuuse mirembe okuva e Dubai mu UAE gye tubadde ku bugenyi obw'ennaku 5, twagguddewo Ttabamiruka wa Buganda Bumu mu Buwalabu, tusobodde okulambula ebifo eby'enjawulo n'okusisinkana abakulembeze ab'enkizo mu Nsi eyo era tusuubira ebibala bingi
Byonna byatambudde bulungi, kyokka twasanze embeera ya bannaffe naddala abaana abawala abayisibwa mu mbeera ennyigiriza obulamu bwabwe omuli n'abakozesebwa obwamalaaya!
Ebikolwa bino tubivumirira era nsabye Omubaka wa Kabaka mu Nsi eyo okulondoola embeera eno n'abakulembeze abalala abavunanyizibwa wabeewo ekikolebwa okukomya ebikolwa nga bino.
Ffenna tusaana okubeera mu Nsi eno nga tugyeyagaliramu awatali kunyigirizibwa.
Enkya ya leero, abantu ba Kabaka bakiise Embuga mu nkola ya #LuwaloLwaffe
Ssaza Mawokota; Ssaabaddu Kituntu, Ssaabawaali Nkozi ne Mut. II Kirengente
Ssaza Busiro; Ssaabawaali Kasanje ne Ssaabagabo Nsangi
Buddu; Ssaabawaali Bukoto
Kyaddondo; Mut. IV Mukulu wa Kibuga Mengo Lubaga
Essaza Rocky Mountains USA
Owek. @KazibweIsrael y'akiikiridde Katikkiro mu kutikkula oluwalo leero
Katikkiro @cpmayiga ayolekedde ggwanga lya America okwetaba mu lukuŋŋaana lwa Buganda Bumu North American Convention #BBNAC2025
Katikkiro ayogeddeko eri Bannamawulire n'ategeeza nti ekibatwala ekikulu kukumaakuma bantu ba Kabaka abali ebweru wa Buganda.
https://t.co/9Moj0OUUmJ
Empaka za Kayima Cup zitongozebwa leero.
Eggombolola ez’enjawulo za kubbinkana mu mupiira gw'ebigere, okubaka, omweso, amaato, emirala
Omwami w'Essaza, Owek. Sarah Nannono Kaweesi akubirizza Abaami b'Egombolola okukunga abantu beeyiwe mu bungi ku bisaawe.
#GgombololaCompetitions