Okusabira Kabaka mu Kkereziya ya Lugazi Cathedral, Mary Queen of Peace.
Omwami wa Kabaka ow'Essaza Kyaddondo, Oweek. Ahmed Matovu Magandaazi y'asomye obubaka bwa Katikkiro eri Abakristo abeetabye mu mmisa omubadde okusaba n'okwebaza Katonda olw'emyaka 33 Kabaka Mutebi II gye yakamala ng'atudde ku Nnamulondo.
Mmisa ekulembeddwa Rev. Fr. Makoboza Charles Lwanga ate nga Omutesiteesi w’emirimu mu Kkereziya eno Fr. Ignatious Kibowa y'ayanirizza Kaggo mu kifo kino.
Mu bubaka bwa Katikkiro asabye abantu bonna abaagaliza Buganda ebirungi okwongera okwegatta mu kaweefube w'okukuuma obuwangwa l, okutumbula obumu n'okukolera awamu okusitula omutindo okusobola okuzza Buganda ku ntikko.
Ku lulwe Kaggo, yebazizza nnyo Abakulembeze b’e Kanisa eno olw’enteekateeka ennungi, era yebazizza Omutambizi Omukulu olw’enjiri ssaako n’Abakristu olw’okujjumbira enteekateeka za Kkereziya n'okubaawo mu bungi mu kusabira Nnyinimu.
#Amatikkira33