Leero nkedde ku ssomero, Kids and Love Daycare and Kindergarten - Bwebajja, okwetaba ku mukolo abaana nga boolesa ebitone byabwe eby'enjawulo ng'essomero likomekkereza olusoma lw'omwaka guno.
Tutuuse mirembe okuva e Dubai mu UAE gye tubadde ku bugenyi obw'ennaku 5, twagguddewo Ttabamiruka wa Buganda Bumu mu Buwalabu, tusobodde okulambula ebifo eby'enjawulo n'okusisinkana abakulembeze ab'enkizo mu Nsi eyo era tusuubira ebibala bingi
Byonna byatambudde bulungi, kyokka twasanze embeera ya bannaffe naddala abaana abawala abayisibwa mu mbeera ennyigiriza obulamu bwabwe omuli n'abakozesebwa obwamalaaya!
Ebikolwa bino tubivumirira era nsabye Omubaka wa Kabaka mu Nsi eyo okulondoola embeera eno n'abakulembeze abalala abavunanyizibwa wabeewo ekikolebwa okukomya ebikolwa nga bino.
Ffenna tusaana okubeera mu Nsi eno nga tugyeyagaliramu awatali kunyigirizibwa.
Ekisaakaate International Schools kitandise olunaku lwa leero nga kino kitegekeddwa ku Kabojja International School e Buziga.
Ekisaakaate kino ky'ekyamasomero agagoberera ensoma y'omutendera gw'Ensi yonna. Kino kye ky'omulundi ogw'okuna (4) era kya kutambulira ku mulamwa "Okukwanaganya Obuwangwa ne Tekinologiya". Kyakutambula okuva leero nga 3 okutuuka nga 12 Kasambula.
Omumyuka w'Omukubiriza w'Olukiiko Owek. Ahmed Omutandisi w'essomero lino ategezezza nti ekisaakaate kino mu baana abali mu 'International Schools' kya nkizo nnyo kubanga abantu bangi balowooza nti eno basomesaayo bya kizungu byokka, naye kati omukisa guzze okwongera okulaga nti abaana bano nabo bagunjulwa mu nnyingo z'obuntubulamu, obuwangwa n'ennono zaabwe.
Ssaabagunjuzi w'Ekisaakaate, Owek. Rashid Lukwago mu kwaniriza Abasaakaate bano bagenda kuyigirizibwa ebintu bingi eby'enjawulo omuli empisa, ebyemikono, n'ebirala ate okuddira ddala ku mulamwa, bayigirizibwe butya bwe bakozesa tekinologiya okumanya n'okutumbula obuwangwa bwabwe.
#EkisaakaateInternationalSchools2025
Ani Avunanyizibwa Okuzza Empisa mu Baana?
Ssaabawolereza wa Buganda Owek. Christopher Bwanika akubiriza abazadde okukulemberamu olutalo ly'okuzza empisa mu baana. Agamba nti Eggwanga erigumidde litandikira ku maka kubanga y'ensibuko y'empisa ez'obugunjufu n'obuntulamu.
Obubaka buno, Owek. Bwanika abuweeredde ku ssomero Stena Hill Secondary School e Lukuli, Nanganda abayizi gyeboolesereza talanta zaabwe wansi, "Obuwangwa bwaffe, bwe busika bwaffe."
Ebisingawo 👇
https://t.co/54eNWJKkSB
Obwakabaka bukuzizza olunaku lw'okusoma ebitabo n'ebiwandiiko, omukolo gutegekeddwa ku Set Light Schools e Entebbe.
Minisita w'Ebyenjigiriza mu Buganda Owek. Choltilda Nakate Kikomeko y'akulembeddemu enteekateeka era mu kwogera kwe ategeezeza nti okusoma ebitabo oba ebiwandiiko kya muwendo nnyo ekisaana okusoosowazibwa n'okunnyikiza mu baana bakule nga bamanyi okusoma ate nga ne bye basoma babitegeera so si kutuusa kusoma kutuusa mukolo oba kuyita bibuuzo.
Amasomero g'Obwakabaka aga 'nursery' gatandise okusomesa mu butongole.
Abaleese abaana baabwe ku masomero gano, basanyukidde enteekateeka eno ne bategeeza nti ejja kubayambako okusomesa abaana ku bisale ebisaamusaamu bwogeraageranya ne bye babadde basasula mu masomero amalala.
Education is as vital as food, and children should value their parents' efforts by taking school seriously.
While engaging with students from Kabojja International School, I shared the history of the Buganda Kingdom to help them understand their roots and appreciate cultural values.
Teaching the younger generation about Uganda’s diverse cultures is essential for building a united nation.