Ekyoto kyabavubuka mu ssaza Busujju ku Mbuga y'Essaza e Mwera, st Joseph's sss Kakindu ne Kakindu vocational s.s.s babadde basaale nnyo mu nsonga eno. Twebaza nnyo ba makerere university & John Hopkins university research collaboration ltd, batuloze bulungi .
Ekyoto kyabavubuka mu ssaza Busujju ku ndwadde eya mukenenya, kiyindidde ku Mbuga enkulu ey'Essaza e Mwera, kino kyatabiddwamu Omwami w'Essaza, Omumyuka Asooka era atwala ekitongole kyabavubuka, Ssentebe wabavubuka mu ssaza omw. Ssozi wamu ne MUJHU Research Collaboration Uganda
Oluvanyuma lw'okukunganya ebyo byonna ebyavudde mu maggombolola, Abaseesa b'Essaza Busujju nga bakulembedwamu Ssentebe waabwe Omw. Leonard Ntambi Batte bawaddeyo Alipoota yebyavudde mu kusala obubonero ku nzirukanya y'Emirimu mu ssaza lyaffe eri Ow'Essaza Kasujju
The coaching staff of Busujju Ssaza together with the team manager Hon. Lukyamuzi David Kalwanga pose for a photo ahead of Busujju vs Ssingo game in the Masaza Cup Tournament 2023 at Ssaza Grounds Maanyi - Busujju.
Olunaku olwaleero Omusomo gw'Abaami ba Kabaka mu Ssaza Busujju guyindidde ku mbuga y'Essaza e Mwera nga gukulembeddwamu kaminsona Robert Ssenabulya wamu ne kaminsona Kitikyamuwogo, ababangudde abaami mu buweereza obwesigamiziddwa ku nnambika wamu n'enyingo ez'Obuntu bulamu.
Olwaleero Essaza Busujju likebereddwa mu nteekateeka ey'okusala Empaka ku nzirukanya y'Emirimu era nga omulimu guno gukulembeddwamu Omw. Hajji Bbosa Juma Mayanja, Omw. Harris Lubega, Omky. Sarah Namugwanya, abekenenyeza emirimu gyonna egyikolebwa mu Ssaza Busujju.