KITALO!
Mbikira Obuganda, Omumbejja Diana Balizzamuggale Teyeggala Katonda amujjuludde! Omumbejja ono abuze, muwala wa Sssekabaka Edward Muteesa II, era muto wa Kabaka Mutebi II.
Omumbejja atawanyiziddwa obulwadde okumala ebbanga, era ajjanjabiddwa mu malwaliro ag'enjawulo, wano n'ebweru wa Uganda.
Enteekateeka z'okumutereka zijja kulangirirwa mu maaso.
Gutusinze nnyo Ayi Ssaabasajja Kabaka, twakuumye bubi!