Just in: Ssaabasajja Kabaka ayogeddeko eri Obuganda.
Agambye nti embeera y'obulamu bwe egenda etereera era asuubirwa okudda ku butaka mu bbanga eritali lya wala.
Yeebazizza Obuganda olw'essaala zonna ezimuweerezebbwa n'obutaggwamu ssuubi wakati mu kusomoozebwa okwamaanyi.
#BugandaUpdates2024
Luweekula Ssempijja Andrew Mukasa alambudde emirimu egikolebwa mu ggombolora ya Musaale Kiyuni.
Alambudde eddwaliro lya Kiyuni H C III, Police, Kiyuni Sec Sch n'oluvannyuma asisinkanye Abaami ba Kabaka ku ggombolora.
Luweekula Andrew Mukasa Ssempijja asisinkanye Abatongole ba Kabaka mu ggombolora Mumyuka Bagezza ne Ssabaddu Butoloogo. Abafalaasidde obutatirira Kabaka mu Buweereza gwabwe.
Oweek Ssempijja Andrew (Luweekula) atongozza olukiiko olugenda okuddukanya omupiira mu Ssaza Buweekula nga lukulemberwa Mwami Kasumba R eran'abagaliza obuwereza obulungi.
Olwa leero Luweekula Ssempijja Andrew Mukasa nabamyuka basisinkanye abakulu okuva mu ssettendekero wa Muteesa I Royal University nebakubaganya ebirowozo kungeri yokuggulawo ettabi lye Buweekula, era abasabye bakozese maanyi nga bali wamu ne bannaBuweekula bonna.
Omwami ow’eggombolola ya Mumyuka-Bagezza Omuwummuze Kasozi John n’omumyukawe Ssegguja Fredrick bawaddeyo wofiisi eri obukulembeze bw’eggombolola obupya wansi wa Mumyuka Hajj Kyiza Hakim ne Zzaake Stephen.
Oweek Nantaayi Immaculate Kafeero awaddeyo wofiisi eri amuddidde mu bigere Oweek Ssempijja Andrew Mukasa ku mbuga e Kaweri ng'Omukolo gukuliddwamu Oweek Joseph Kawuki minisita wa Gavumenti ez'Ebitundu.Ssabasajja Kabaka asiimye Oweek Nantaayi n'amuwa emmotoka ng'ekirabo ky'Obuwere
Luweekula Ssempijja Andrew Mukasa leero asisinkanye abavubuka ku Ssaza kunsonga y’enzirukanya ya Ttiimu y’Essaza omwaka 2024.Abavubuka bawandiikira Luweekula nga bamusaba kumulundi guno abaana ba waka batunuulirwe mukusunsula Ttiimu y’Essaza era Luweekula ayanirizza okusaba kwabw
Olukiiko lw’Essaza Buweekula olwomulundi ogw’okubiri mu mwaka 2024 lutudde ku mbuga ya Luweekula e Kaweri nga lukubiriziddwa omukubiriza waalwo Canon Kaboza E Sserungoji Ssalongo.
Kanso eyisizza ekiteeso ekikungubagira n’okusiima emirimu egyakolebwa eyali omulezi w’Essaza.
We were honoured to host the Duke of Edinburgh, His Royal Highness Prince Edward accompanied by the British high commissioner @kate_airey at the Kingdom headquarters.
On 8th October 1962, the Duke of Kent Prince Edward entered this building to handover the instruments that saw the end of our agreements with the United Kingdom and on the following day was Independence Day.
His Royal Highness is the second Duke to visit the Kingdom in nearly 62 years
Luweekula Nantayi Immaculate Kafeero alambudde omwoleso ogukulembedde okukyala kwa Katikkiro mu Buweekula enkya munteekateeka ya Mmwanyi Terimba. Katikkiro wakukuba olukungaana kukisaawe kya Kasaana Play Grounds mu ggombolora ya Mut I Kitenga mu Buweekula.
Nnambudde omulimu ogukolebwa ku Masiro e Kasubi, era kati ebitundu nga 90 ku 100 tubimaliriza ku mulimu guno.
Buli lwetambula omulimu guno, enjawulo erabika era ebisigaddeyo bitono nnyo, naddala munda, essaawa yonna omulimu tugenda kuguggyako engalo, Amasiro gaggulwewo.