Kkanso y'essaza esembye mu mwaka etudde leero. Mubaddemu omugenyi ow'enjawulo (Mukwaya Lawrence)ng'ono Kamisona mu Bwakabaka era y'alera essaza lya Buluuli. Atulungamizza mu nsonga ez'enjawulo naddala mu ntambuza y'emirimu.
@BugandaOfficial
@JosephKawuki_
Nga 3/12/2023, Minista w'Amawulire Oweek. Israel Kazibwe Kitooke yeetaba ku Cultural day ya Little School house esangibwa mu butongole bwe Ssenge mu muluka Naluvule mu Ggombolola Mumyuka Wakiso ng'omugenyi omukulu. Yasaba abazadde baagazise abaana obuwangwa bwabwe
Omumyuka wa Ssabagabo Nsangi y'akwasa Musaale Nabbingo akasanduuko k'obupiira bukalimpitawa era nabakuutira okulwanyisa mukenenya. Bino byakolebwa wakati w'olusiisira lw'ebyobulamu olwawagirwa Nyange medical services n'ekitongole ky'eby'obulamu Ssabagabo Nsangi nga 1/12/2023
Nga 1/12/2023, Sebwana yakulemberamu abavubuka okuva mu Busiro ne boolekera Bulemeezi ku mukolo gw'olunaku lwabavubuka mu Buganda. Mu bamu ku beetaba ku bikujjuko bino mwalimu Abaseesa Nsereko Ibrahim ne Namata Victoria
@BugandaOfficial
@JosephKawuki_
Ssebwana alambudde ekkolero ly'omutaka Vvule James Sserunjogi elisangibwa mu muluka Mut. V Buloba mu ggombolola lya Mumyuka Wakiso
@BugandaOfficial
@JosephKawuki_
Sebwana era akyaddeko mu muluka gwe Bukasa mu kifo kya Mw. Mayambala Lawrence ekiyitibwa KR ekisangibwa ku kyalo Buyera. Eno yewatuula enkiiko z'omuluka zonna. Basabye Sebwana alondoole ensonga y'ebitaawulizi aate ye Sebwana nabasaba obutatunda ttaka n'okwenyigira mu luwalo