BREAKING: H.E. Salva Kiir Mayardit, President of the Republic of South Sudan is the new Chairperson of the East African Community.
📸: Courtesy
#NBSUpdates
Omubaka wa Kawempe North mu paalamenti Muhammad Ssegirinya alaajanye nti awulira obulamu bugendera wabula ekisinga okumuluma kuleka nga tatuukirizza byeyasuubiza abalonzi be.
@mnamayo2#NBSAmasengejje#NBSUpdates
Ekiriwo kati : Katuukiro wa Busoga @JosephMuvawala atuuse ku Bulange okusisinkana Katikkiro @cpmayiga ne Baminisita ba Kabaka boogere ku nteekateeka z'embaga ya @KingNadiopeIV. #BBSKATI
Olowooza ki kukya gavumenti okwagala okwezza obuvunaanyizibwa bw’okusuubula amafuta okugayingiza mu ggwanga olwo Kampuni z’amafuta endala zijigasuubuleko nga kino kigendereddwamu kukkakkanya ku bbeeyi y’amafuta eyekanama buli lukya? #BBSKATI
Nakinku mu muzannyo ogw’okusitula obuzito munnayuganda @RoyMubiru2 nga asinziira mu ggwanga lya America aweze okuwangula empaka eza world Strong man Championship ezigenda okubeerayo ku lw’omukaga olujja. Empaka zino zigenda kutegekebwa mu kibuga Massachusetts. #BBSGambuuze #BBSAgeesigika #BBSKATI
Kitalo! Omwana wa myaka 2 afiiridde mu kabenje k’emmotoka ate bazadde be nebaddusibwa mu ddwaliro e Namutumba mu Busoga nga biwalattaka. Kiddiridde emmotoka mwebabadde ekika kya Toyota Wish nnamba UBF 063F okutomera ente mu kiro ekikeesezza olwaleero neyefuula emirundi egiwerako oluvannyuma n’ekwata omuliro nga babadde bava ku mukolo mu bitundu bye Busoga nga boolekera Kampala .
Omwogezi wa Poliisi mu Busoga East, Diana Nandawula akakasizza amawulire gano. #BBSKATI #BBSGambuuze #BBSAgeesigika
Omulamuzi w’eddaala erisooka ku kkooti ya Buganda Road mu Kampala, Ronald Kayizzi ayimbudde eyali omukozi wa Kampuni ya Flori Investments Limited, Nakayenga Latifah ku kakalu ka kkooti ka bukadde bubiri ez’obuliwo era n’okuwaayo Paasipooti ye eri kkooti.
Omulamuzi Ronald Kayizzi okukkiriza Nakayenga okweyimirirwa, kiddiridde munnamateeka we Luwambya Musa okusaba omulamuzi akkirize omusango guno bagumalire wabweru wa kkooti oluvannyuma lw’okukkaanya kwebabadde batuuseeko wakati w’enjuyi zombi. #BBSKATI #BBSGambuuze #BBSAgeesigika
Pulezidenti w’ekibiina ki @NUP_Ug@HEBobiwine
alaze obwennyamivu olwabantu abenkwe abeefula nti balungi mu maaso ga Katonda kyokka ate nebakola ebyambyone .
Bino abyogeredde mu kulamaga e Birinzi ku kiggwa kya Kalooli Lwanga mu kitambiro kya Mmisa ekikulembeddwamu
Omusumba w’e Ssaza ly’e Masaka Serverus Jjumba. #BBSKATI