Henry Mutumba, Ssenkulu wa Kabaka UK ne Ireland, ku lw'olukiiko lwe, beeyamye okutuusa obuweereza obutaliiko kkomo okusobola okuyamba abantu mu ngeri ezโenjawulo omuli; okusoma, obujjanjabi, okuyiga eby'obulimi, n'okufuna amazzi amayonjo.
Ku mukolo guno Ssaabasajja Kabaka yebazizza abo bonna abakwatiddeko ekitongole kino okutuukiriza omulamwa ogwakitandisaawo era n'asaba abantu okwongera okukwasizaako ekitongole kino okulaba nga kituusa obuweereza eri abantu. Obubaka bwa Kabaka busomeddwa Omumbejja Joan Nassolo..
Kabaka foundation (UK chapter) ejaguzza okuweza emyaka 30
Omukolo gutegekeddwa ku Royal National Hotel e London mu Bungereza, okujaguza ebituukiddwako mu myaka 30 okuva Ssaabasajja Kabaka atandikawo ekitongole kino.
Ettabi lye Bungereza nalyo lijaguzza okuweza emyaka 30 .
Hon. Hassan Kaps Fungaroo, Omubaka wa Obongi County akyaddeko Embuga ng'awerekeddwako abamu ku bawagizi be era abantu b'ekitundu ky'akiikirira mu Paalamenti.
Ku lwa Katikkiro, ono ayaniriddwa Omuk. Peter Zzaake ne Omuk. David Ntege abamulambuza ebimu ku bifo ebyenkizo mu Bulange
Katikkiro Charles Peter Mayiga asisinkanye abamu ku batongole, nga bano be baami ba Kabaka abamukulembererako abantu be ku mutendera gw'ekyalo, ensisinkano ebadde mu Bulange e Mmengo.
Abayizi ba Buganda Royal Institute boolesezza omutindo mu kutunga n'emisono.
Abayizi ku ttendekero lya Buganda Royal Institute of Business and Technical Education e Mmengo abasoma eby'emisono n'okutunga boolesezza omutindo mu bibasomesebwa mu bwoleke ku mwoleso gwebatuumye
Nnaabagereka Sylvia Nagginda atuuse ku mukolo gw'abaana mu Buganda ogugenda maaso mu Lubiri e Mmengo.
Ayaniriziddwa Minisita w'ekikula ky'abantu Owek. Mariam Mayanja Nkalubo, Ssaabawolereza wa Buganda Owek. Christopher Bwanika ne Omukubiriza wโOlukiiko lw'Abataka Omutaka Namwama.
Ssanyu Jjereere: Obuganda busagambiza lwa mazaalibwa ga Kabaka ag'emyaka 71
Okujaguza amazaalibwa ga Kabaka okw'omulundi guno kukwatidwa ku eklesia ya St. Nicholas Orthodox Cathedral e Namugoona era kukulembeddwamu Ssaabalabirizi Jeronymos Muzeeyi, okubuulira kukulembeddwamu
The wait is over! Kits for the #KabakaBirthdayRun2026 are now available at Bulange-Mengo and all Airtel shops.
Join the race to end HIV/AIDS by 2030. Letโs run for health, for heritage, and for the King!
Grab your kit today for UGX 25,000. #WorldWaterDay#EndAIDS2030#Buganda