If you haven’t watched this @cbsfm_ug program of Owek. @cpmayiga and Mr. Magala; then you are missing out on some very important history of Buganda kingdom and Uganda 🇺🇬 as a whole. I highly recommend it… Mr. Magala is a moving encyclopedia…. but also his quest for knowledge is very inspiring for someone who stopped formal education in Primary 2.
You can find the program on this YouTube link 👉🏾👉🏾 https://t.co/dyKQCXW4ue
Obwakabaka bwebazizza Muzeeyi Magala olw'okulwanirira Nnamulondo nga ayita mu kwogera ebikwata ku Bwakabaka ku mitimbagano n'okugatta ettoffaali ku nkulaakulana y'obwakabaka.
Bw'abadde amukyazizza mu Bulange enkya ya leero, Katikkiro Charles Peter Mayiga agambye nti okwolesebwa kw'obwakabaka ye Buganda okudda ku ntikko, naye omulimu ogwo ssi gwa Katikkiro yekka wabula buli muntu mu kiti kye avunaanyizibwa butereevu ku kuzza Buganda ku ntikko, okugeza; omusomesa, omuyimbi, omulimi, munnamawulire, omukadde, omuvubuka okozeewo ki. Kuno kw'asinzidde ne yeebaza Muzeeyi Magala Tazzibwawo Balikyewunya atadde ettoffaali eddene ku kuzza Buganda ku ntikko mu kwogera obubaka obuyigiriza ebyafaayo bya Buganda, n'okulwanirira Nnamulondo.
Katikkiro awadde bannamitimbagano amagezi okusooka okukola okunoonyereza ku bye babuulira abantu, n'agamba nti okwogera ekintu nga tokirinaako bukakafu kikusuula mu buzibu ekivaako okukangavvula amateeka. Abakubirizza okwewala okuwemula, n'okukyamuukirira kubanga omutimbagano gusobola okukufuula ow'amaanyi oba okukusuula ekigwo.
Mu bigambo bye, Muzeeyi Magala, yeebazizza obwakabaka olw'okufaayo ku muntu wa bulijjo ali mu kiti nga ekikye n'asembezebwa embuga.
Minisita w'Amawulire Okukunga era Omwogezi w'Obwakabaka, Oweek Israel Kazibwe Kitooke, mu buvunaanyizibwa bwe obw'okukunga abantu n'amawulire, ne bannamitimbagano nga Muzeeyi Magala nabo abalondoola era yakizuula nti Muzeeyi Magala alina eby'okuyiga bingi abantu ba Buganda bye beetaaga okumanya.
Bannabitone okuli; Mesarch Ssemakula, Ronald Mayinja, Kazibwe Kapo, Princess Amira, bawerekeddeko Muzeeyi Magala okukiika embuga.
Your prime is 30-45
Don’t be wasting time in your 20s with useless ungrateful girls, your prime needs to find you in good shape mentally, physically and financially
Then the pull you will have , you will never understand 🙌🏻
Prepare for that young king 🤝