Hon. Ssemujju Ibrahim Nganda: The destiny now requires us to work with Joel Ssenyonyi. We don't have time to quarrel; we shall work with him.
#NBSMorningBreeze#NBSUpdates
Omuserikale wa Poliisi avudde mu mbeera n'akuba banne amasasi okukkakkana ng'omu afiiriddewo ate ababiri nebagendera ku bisago. Ensasagge eno ebadde Wakiso mu ttawuni kkanso ye Kajjansi mu kitundu ekiyitibwa Kinyarwanda mu Akright Estate, mu kiro ekikeesezza olwaleero. Kigambibwa nti abasirikale bano baafunyemu obutakkanya bwebaabadde banywa omwenge mu bbaala emu ekyaviiriddeko omu okunona emmundu mu maka g’abadde akuuma n’abasindirira amasasi oluvannyuma n’atandika okukuba amalala mu bbanga okugumbulula abantu ababadde batandise okukungaana.
Poliisi ye Kajjansi eyitiddwa n’eggyawo omulambo n’abaakubiddwa amasasi n'ebatwala mu ddwaliro okufuna obujanjabi. Omwogezi wa Poliisi Kampala n’emiriraano, @Patrickonyango1 agambye nti bakyanoonyereza n’oluvannyuma bafulumye alipoota ku bibaddewo. #BBSGambuuze #BBSAgeesigika #BBSKATI