Top Tweets for #BugandaOver1000yrs
KIMERA ALYA OBUGANDA
Omulangira Kalemeera yazaamira mu kubo ng’akomawo. Kabaka Ccwa Nnabakka bwe yamanya nga mutabani we baamukolera lukwe, n’anyiga era ne Walusimbi n’agobwa ku Bwakatikkiro, ne balonda Ssebwana ku Bwakatikkiro. Ccwa Nnabakka bwe yabula olw’obusungu, Obuganda bwasigala tebulina Mulangira alya Bwakabaka.
Ssebwana, Naŋŋoma ne Nnaabugwamu baali nga bakimanyi nti Kalemeera yaleka azadde omwana e Bunyolo, naye nga ne Winyi yali tamanyi nti mulangira.
Abantu bwe baakowa effugabbi lya Ssebwana, ate nga n’olugambo lwali luyise mu bantu nti Kalemeera yaleka azadde Omulangira, Nnakku e Gganda, nga ye muzaana oli ow’omukolo, ne Najjuka e Kireka, baasala amagezi agaggya Ssebwana ku ntebe. Nnakku yatuma Nnaabugwamu n’Abakulu b’ebika, okugenda okunona Omulangira e Bunyolo. Naŋŋoma ekyo olw’akimanya nti bakimye Omulangira, yagenda mangu e Bunyoro ewa Winyi balonde omu ku Balangira, agende alye Obuganda.
Winyi bwe yalonda Omulangira, Naŋŋoma n’amugaana, n’amugamba asindike Kamuwanda, era n’amutuuma erinnya Kimera, agende ameze Obuganda, ng’ajjukira olusoozi lwa jjajjaawe Kintu, Naŋŋoma lw’akuuma.
Nnaabugwamu yasanga Omulangira anaalya Obwakabaka bwa Buganda asimbuka okujja mu Buganda.
🔵Lindirira ekitundu ekiddako👌
#BugandaYiyo_BugandaYange

Tweyanziza nnyo enteekateeka eno ey'okutusomesa ebyafaayo bino
#BugandaOver1000yrs
#BugandaYiyo_BugandaYange
OMULANGIRA KALEMEERA MWETIKKIZANKUMBI.
Omulangira Kalemeera yawaayirizibwa nti yali azizza omusango mu Lubiri. Katikkiro Walusimbi n’amasalira okuleeta olufuubanja oba olukoni okusobola okumusonyiwa. Ebintu ebyasalwa byali bingi nnyo, ng’ekigendererwa kumulemesa adduke, aleme kudda ku Bwakabaka.
Kalemeera yasindikibwa e Bunyolo ewa Omukama Winyi. Okumanya nga kyali kitegeke, bwe yali agenda baamuwa abantu bangi ab’okumuwerekerako. Abataka abaalondebwa baali bataano.
Bano be baalondebwa okuwerekera Omulangira:-
i) Mulegeya oluvannyuma eyafuuka Kamulegeya,
ii) Kakebe mutabani wa Nnaabugwamu,
iii) Mazige, Sebatta ne Mpinga.
Nnaabugwamu e Ssambwe Bulemeezi, nga akyayitibwa Kakebe, yasanga Kabaka ne Mugema ne Mbajja nga boota omuliro ogwali gwaka nga bakozesa nsimbi. Kakebe n’alowoza nti baali boonoona okwokya ensimbi. Bwatyo yagugwamu n’aguzikiza. Kye yava atuumibwa erya Nnaabugwamu.
Ate eyo e Bunyolo nayo Kalemeera yaddukayo n’abakungu be Kakebe, Sebatta ne Mpinga, ng’asobezza ku Nabidondoli muka kitaawe omuto Winyi, ng’amufunisizza olubuto.
Omulangira bwe yazaalibwa, baamukweka. Mulegeya baamulekayo olw’ensonga, nti ye yalonda Kimera n’amuwa mukazi we Wannyana n’amuyonsa ne Katumba. Wano Mulegeya w’afuukira Mugema Omukulu w’Ekika ky’Enkima olw’okugema okuseerera kwa Kimera.
Era wano w’aggy’ekitiibwa eky’okuzala Kimera, n’afuuka Jjajja w'Obuganda. Okuva olwo, Omuzaana buli lw’abeera olubuto, tumugamba nti alina ettu lya Mugema. Ne Kabaka buli lw’abeera ayogera ku kitaawe, amuyita Mugema. Okuva ku olwo, Kabaka tawasa wa Nkima.
#BugandaYiyo_BugandaYange

BAKABAKA BA BUGANDA
2. CCWANNABAKKA:
Nnaalinnya we ayitibwa Batenga. Yamufuna agenda Bukasa kufuna luzaalo. Omulongo we ayitibwa Lukungo. Ennyumba ye eyitibwa Batandabeezaala. Ejjемbe lye liyitibwa Kasajja. Bakatikkiro be, be baali Walusimbi eyeddira Effumbe, ne Ssebwana eyeddira Olugave.
Bakadde be, be ba Kimaleempaka, ne Namukana Owengeye. Emyaka gye yafugiramu 1187-1217 okusinziira ku Dr. Adam Kimala, ne 1230-1274 okusinziira ku Dr. Kiwanuka . Amasiro ge gali Bugumya mu Busiro. Abazaana be, be ba: -
i) Nakiwala wa Nnóŋŋe- ye yazaala Kalemeera omutikkizankumbi.
ii) Nnakku wa Ffumbe- teyazaala. Yali wa mukolo.
iii) Najjuka e Kireka. Wa Butiko.
🔵 Lindirira ekitundu ekiddako 👌
#BugandaYiyo_BugandaYange

GAVUMENTI YA KATO KINTU
Kato Kintu bwe yava e Buddo, yagenda e Nnono mu Busujju. Eyo gye yakola gavumenti ye eyasooka wano mu Buganda.
Yalimu abakulu b’ebika, Abakungu abaddduka, n’abo abatadduka abayitibwa Bannansangwa.
Eno ye gavumenti y’Omugendo eyasooka wano. Gavumenti eno yagatta Obuganda bwonna ne butambulira wamu okutuukira ddala wano jjo ly’abalamu ng’Omuzungu azze okuggyaawo Obwakabaka, okunyaga ettaka lyaffe, okutwawulamu n’okutunafuya.
Kintu ono ayitibwa Kabaka wa Buganda omuberyeberye olw’ensonga nti ye yasooka okufuga obulungi ennyo Obuganda. Yaleeta emirembe mu Buganda, entalo ezaali mu bika nga balwanira Obwakabaka ne zikoma. Kino yakikola ng’ayita mu kukola gavumenti ya Buganda eyasookera ddala. Eyo ye gavumenti eyaleetawo enfuga ey’omulembe. Bano be baali mu gavumenti ye e Nnono, Busujju:
1. Bwoya, Mugema. Wa Nkima, ng’atuula Malanga e Busujju.
2. Kayimbyobutego, Kibaale wa Buganda. Wa Mpeewo. Yadda kkungu.
3. Walusimbi, eyali akuuma ebika ebitadduka, kyokka nga nabyo byekweka Bbemba, ebiyitibwa Binnansangwa.
4. Muwanga ow’e Kaliggwa ne Kakulukuku, ba Ŋŋonge, be Bakatikkiro be abaaliko.
5. Mubiru Gabunga, wa Mmamba, Omudduumiizi omukulu.
6. Mukiibi Ssebuke, wa Lugave, Omudduumiizi addirira Gabunga.
7. Kayira, wa Mbogo. Ng’atuula Magonga Busujju.
8. Kalibbala, wa Nseenene. Musaale wa Buganda. Ng’atuula Nsisi, Nnono. Ono kwe baawetera emikwero gy’enju Buganda.
9. Kyeeya Muteesaasiira, wa Ngo. Ng’atuula Magonga Nnono Busujju.
10. Mutasingwa, wa Mbwa. Ng’atuula Kigwa Busujju.
11. Kiwutta Kyasooka, Nnankere wa Mmamba (Musiige). Ng’atuula Nnono Busujju.
12. Bakazirweendo Ssemmandwa, wa Ngeye.
13. Nsumba, wa Mpindi.
14. Mwanje, wa Ngo; Musiige. Ng’atuula Magonga, Nnono Busujju.
15. Mutaawe, wa Ngabi. Ng’atuula Nandwagudde, e Nnono Busujju.
16. Kalubuna, wa Nseenene. Ng’atuula Kibangulo Busujju.
17. Ssessaka Sekasamba.
18. Kitandwa, wa Njaza.
19. Kyaddondo, wa Nvuma, Ssaabaddu wa Buganda.
20. Kagobe, wa Ffumbe.
21. Nsereko Namwama, wa Kkobe.
22. Kyeyune, wa Nnyonyi. Musolooza, era Ssekiboobo.
23. Balaasi, wa Nkima.
24. Mulajje, Katikkiro w’e Magonga.
25. Kakooto Mbaziira, wa Nnyonyi. Ng’atuula Bulimo.
26. Kisenge, wa Njovu.
27. Kakoma, wa Nvuma.
28. Bukulu, yava Ssese era yaddayo oluvannyuma.
29. Nnyininsiko, wa Njovu.
Kintu yaleetawo enkolagana mu bika nga buli kika akiwadde emirimu mu Bwakabaka, ne wataba wadde ekimu ekirekebwa ebweru (Laba Ssemateeka wa Buganda mu Kitabo Abaganda Ab’ Edda, olup. 110).
Abalongo ba Kintu ono, baali mu lubiri e Bunnamwaya, oluvannyuma ne batwalibwa e Magonga eri Amasiro ge. Abantu kye bava balayira nti Kintu e Magonga.
🔵 Lindirira ekitundu ekiddako 👌
#BugandaYiyo_BugandaYange

SSEKABAKA MULONDO
Cc: @BugandYiyoYange
Ono ya Kabaka wa @BugandaKingdom_ eYalya Obwakabaka nga muto nnyo. Bakojja be kwe ku mubajjira entebe kwe
baamutuuzanga abantu bamulengere. Entebe eyo baagituuma erinnya lya nnyina
Namulondo, kubanga yatulanga ku mubiri gwa nnyina Namulondo eyamuleranga ku ntebe nga bali mu lukiiko. Okuva olwo entebe eyo bw'eyitibwa.
Ssekabaka Mulondo Yazaala
Kazibwe, Kaliga Ssekamaanya ne Walugembe. Omulangira Kazibwe yasigibwa eBusoga, Lukidi gye yava okulya Obwakabaka bwa Bunyolo. Ekifo Kazibwe we yagenda, okuliraana omugga Mpologoma, baatuumawo Busikirano; abazaaliranwa baayo bo baalisalako en bayitawo Busiki. Ye Omulangira owookubiri Kaliga, yasindikibwa Bulondo gy'akolera emikolo ku Mulangira abeera avudde mu kakomera.
Abamu bagamba nti ekigambo Nnyazaala kya bakyala bokka, nti omusaja tabeera na Nnyazaala. Kino si kituufu, buli omu abeera ne Nnyazaala amuzaalira munne. Ekigambo kino kyadda nnyo, era ne Kabaka Mulondo yakisangawo era n'akikozesa. Ye yalagira abantu be okuddukanga bannyazaala baabwe ababazaalira ba bbaabwe oba bakyala ba bwe. Yatunula ku nyazaala we nga mulungi nnyo nga muto, n'atayagala kuddayo ku
mutunulako, si kulwa ng'afuna ekikemo. Yamuwera okumuyita mu maaso. Yalagira ne
basajja be bonna obutaddayo kulaba oba okukwata ku bannyazaala ba bwe (Laba Bassekabaka be' Buganda ekya Sir. Apolo Kaggwa). Wano bannyazaala we baatandikira okwebikkirira ku mitwe n'entumbwe. Nnyazaala kigambo kiganda kyadda nga kitegeeza omukulu omukazi akuzaalira mukyala wo oba balo. Omusaja ayitibwa Ssezaala. Omwana Omuganda tayogera (taatula) mannya ga bakadde be. Waakiri ayogera ekyalo omukadde gy abeera n'agamba nti, ŋŋamba taata e Nsooloolo mu Buddu, oba nti Maama ow'e Nsaamu e Mawokota"
Omuntu abeera n'abakadde abamuzaala babiri, Omukadde omukazi n'omukadde omusajja.
Mu Luganda olw'ebitontome, omuli ebisoko, bakozesa ekigambo "Omukadde Omukazi"
okutegeeza Maama oba Nnyazaala eyamuzaalira omulungi gw'awaana. Omusajja akikozesa ng'alayira nnyina amuzaala, bw'abeera ng'atemye ekyeso, oba ng'alanya. Omukazi akikozesa ng'alayira nnyina ng'abadde yeekoonye oba asudde ekintu mu butanwa nga kimusimattuse. Era Omuganda tayitaba nnyina nti, "Wangi Nnyabo!" Nnyabo kiwa mukyala yenna kitiibwa. Maama bamuyitaba nti, "Wangi Maama!" oba nti, "Wangi, Omukadde omukazi anzaala!" Ekigambo n'olwekyo bombi omusajja n'omukazi bakikozesa. Kiwulikikanga abakyala bokka be bakikozesa, kubanga be basinga okweraliikirira Bannyazaala baabwe. Ne Bannyazaala tebasonyiwa Bakaamwana, kasita balaba nga batabani baabwe bayisibwa bubi, nga bakazi baabwe abo babakola ebitanyuma.
Mu ngeri y'emu, abantu bagamba nti eriyo kigambo kimu kya Namwandu, ng'ekya Ssemwandu tekiriiyo. Nakyo gyekiri, wabula mu Buganda tekyakala. Omusajja Omuganda kyali kya bujega okuwasa omukazi omu, era baagambanga nti omukazi omu, wa bawuulu. Kale omukazi bwe yafanga, ng'omusajja tafuuka Ssemwandu kubanga nga waliwo abakyala abasigalawo. Eyalinanga omu, yayanguwanga okwabya olumbe asobole okuwasa, kubanga mu Buganda obuwuulu kive. Oluwasa bw'ati, ng'Obwassemwandu bufa. Naye kati bujja kutaba engeri gye twasalawo okuwasa ekizungu mu ddiini. Abaana ne bwe baba tebasobola kulabirira kitaabwe nga nnyaabwe afudde, era tebaagala kitaabwe kubaleetamu 'mukazi' mulala, era ye tebamuyita nnyaabwe.
Nnaalinnya we ye Muggale.
Omulongo we ye Kyerula.
Ennyumba ye eyitibwa Batandabezaala. Ejjembe lye liyitibwa Siimuwuun
Katikkiro we, ye yali Ssekajja wa Nvuma.
Bakadde be, be baali Nakibinge ne Namulondo Najjantyo wa Butiko.
Amasiro ge gali Bulondoganyi, Mitwebiri mu Busiro.
Abazaana be, yawayira omuzaana omu Nnakku Oweffumbe, atali oli ow'omukolo. Yazaala Kazibwe, Kaliga Ssekamaanya ne Walugembe.
Ebibuga Mulondo bye yakuba- Mitwebiri.

SSEKABAKA SSUUNA I KISOLO
@BugandYiyoYange
Ssekabaka Ssuuna l ye Kabaka wa @BugandaKingdom_ ow'ekumin'omu (11) mu Luse lwa Kabaka Kintu .
Ssekabaka Ssuuna yalya Obwakabaka nga emyaka gye gigenderedde era nga yaddira mugandawe Jjemba mu ntebe .
Kinajjukirwa nti Ssekabaka Nakibinge mu ba Ssekabaka ba Buganda , y'omu ku Bassekabaka abatono abazaala abaana Omwava ba Kabaka abasatu . Mulondo , Jjemba ne Ssuuna I .
Ssekabaka Ssuuna , mutabani wa Ssekabaka Nakibinge . Maama we yali Nassuuna ow'Emmamba . Lubuga we yali Giibwa Nnanyimbabuna . Omulongowe Ssegantebuka . Ennyumba ya Ssekabaka Ssuuna yagituuma Batandabeezaala ate e jjemberye , yalituuma Ssiimuwuune .
Katikkiro wa Ssekabaka Ssuuna yeeyali Kisolo ng'ono yali yeddira Nseenene .
Ssekabaka Ssuuna l yalina abakyala babiri ; Nabugo eyali yeddira e Ffumbe ne Nalugwa ow'Endiga .
Ssekabaka Ssuuna l yazaala abalangira okwali ; Ssewatti , Ggoogombe , Kimbugwe ne Kiwaali .
Bweyakisa omukono , Ssekabaka Ssuuna l , yaterekebwa mu masiro agasangibwa e Jjmbo mu Busiro gyeyali yakuba ekibuga kye.
#BugandaOver1000yrs
#BugandaYiyoBugandaYange

📢 WENDA WENDA WENDA.....
OMULIMU GWOKUZZAAWO AMASIRO GUWEDDE!!
Katikkiro alangiridde
#BugandaKuNtikko
#BugandaOver1000yrs
#BugandaYiyo_BugandaYange
Ssenkulu wa @TourBugandaUG Omukungu @NajibSsekikubo nga alambika kunsonga ezimu eziviriddeko abantu abamu okudduka mu masinziizo gaffe bwe yabadde akyaziddwa mu studio za @AlternativeUga .
#TourBuganda
#BugandaOver1000yrs
#BugandaYiyo_BugandaYange

🚨| LISTEN: Spiritually in @BugandaKingdom_, the Kabaka stands as the bridge between the people and God honored through sacred drums, spears and royal regalia.
Kabaka Kintu brought peace by uniting the rival clans to set up a regional super power

Ennaku y'obwetwaze eno ejjukiza abavubuka nti mmwe muli essuubi ly’Obwakabaka.
Buganda yasalawo okwefuga mu ngeri eyekitiibwa, naye kaakano mmwe abavubuka mulina okugiyimiriza, mugiggumize era mugireetere enkulakulana. Fuba, oyigirize, otegeere, Buganda etunula gy’oli
AMEFUGA AMALUNGI BUGANDA @BugandaKingdom_ ON BEHALF OF BUSOGA KINGDOM @BusogaTourism

Today, we celebrate not just a date but a legacy.
Buganda’s Independence Day reminds us of a Kingdom built on deep roots of culture, pride and resilience. From the mighty Kabaka to every son and daughter of the land, may we continue to carry our identity with honor and unity. Long live Buganda
Wangaala Ssabasajja Kabaka Muwenda Mutebi II

💙🤍💙 BUGANDA.
Olwaleero giweredde ddala emyaka 63 ng'abafunzi bamwatwala bakomezawo obwetwaze bwa Nyaffe Buganda mu mwaka 1962.
#BugandaOver1000yrs
#BugandaYiyo_BugandaYange

OBUBAKA BWA SSAABASAJJA KABAKA NGA BUGANDA EJJAGUZA AMEFUGA GAYO.
#BugandaOver1000yrs
#BugandaYiyo_BugandaYange

Ssekabaka Bukaajumbe Daudi Ccwa II lwe yasiima okulambula Obwakabaka bwa Bungereza.
#BugandaOver1000yrs
#BugandaYiyo_BugandaYange

EBALUWA YA SSEKABAKA MUTEESA I EYAYITA ABAMINSANI NGA 3rd APRIL 1876
#BugandaOver1000yrs
#BugandaYiyo_BugandaYange

Last Seen Hashtags on Sotwe
Most Popular Users

Elon Musk 
@elonmusk
241.5M followers

Barack Obama 
@barackobama
118.8M followers

Cristiano Ronaldo 
@cristiano
114.5M followers

Donald J. Trump 
@realdonaldtrump
111.8M followers

Narendra Modi 
@narendramodi
107.1M followers

Rihanna 
@rihanna
98.7M followers

NASA 
@nasa
92.3M followers

Justin Bieber 
@justinbieber
91.8M followers

KATY PERRY 
@katyperry
90M followers

Taylor Swift 
@taylorswift13
84M followers

Lady Gaga 
@ladygaga
75.5M followers

Virat Kohli 
@imvkohli
73.5M followers

Kim Kardashian 
@kimkardashian
70.9M followers

YouTube 
@youtube
68.8M followers

Neymar Jr 
@neymarjr
66.5M followers

Bill Gates 
@billgates
65.3M followers

Selena Gomez 
@selenagomez
63.1M followers

The Ellen Show
@theellenshow
62.2M followers

CNN 
@cnn
61.7M followers

X 
@x
60.7M followers