Top Tweets for #OWeek
🐾 O-Week starts today! 💛🖤
Welcome to Michigan Tech, new undergraduate and graduate Huskies! Get ready to explore campus, make connections, and kick off an amazing Fall 2026.
We’re glad you’re here! 🐾
#MichiganTech #WelcomeHuskies #OWeek #HuskyNation

@leemarklvia ini kak

NALUBEGA ANNE CLAIRE Muzzukulu wa Nsamba ye Nnalulungi w'Ebyolambuzi omuggya 2026-2027 mu Ssaza lya Ssaabasajja Kabaka @EssazaBuluuli.
Queen Nalubega okuwangula obwa Nnalulungi yabadde avuganya ne banne abalala 5, empaka ezayindidde ku Freedom cottages Kakoge Ssaza Buluuli. Ono yaddiriddwa 1st Runner NAKIIBI GERTRUDE ne 2nd Runner NAMBAZIRA TRICIA. Nga banno 3 be bagenda okukikirira Essaza Buluuli ku mpaka z’akamalirizo ez’Obwakabaka bwa Buganda 2026-2027.
Omwami w'Essaza Buluuli ekyakikiriddwa Omumyuka ow'okubiri Oweek Ssebaale Johnmary mu bubaka bwe eri abantu ba Kabaka mu Buluuli yabasabye okwongera okunyweza obumu era yabakuutidde bulijjo bakole nnyo okulaba nga bazza ensi yabwe Buganda ku Ntikko. Ono yebazizza nnyo abazzadde abawaddeyo abaana babwe okwetaba mu mpaka zino era bwatyo nasaba abazzadde okwongera okuwagira abaana babwe,
ng'amaliriza bwatyo tasabye abaana abawala abayisewo okugenda okukikirira Essaza lino bulungi bwebatyo bakomewo n'enguule y'obwa Nnalulungi 2026-2027 nga bwe kibadde ku Queen Nambaziira Joan.
Omwami wa Kabaka eyawumula Oweek Gerald kyanjo eyali alamulirako Kabaka's Essaza lino, yebazizza nnyo Ssaabasajja Kabaka okutekawo enteekateeka eno ey’ekitiibwa gyeyategezeza nti egenda kwongera okuyamba abaana abawala okwongera okwekiririzamu wamu n'okubeera ab'enjawulo munsi yonna. Wano yasabye abantu ba Kabaka bonna mu Ssaza okuvayo okujjumbira enteekateeka nga zino n'endala ez'enjawulo ezitekebwawo Obwakabaka okusitula embeera z'abantu bwabwo.
Ssentebe w'olukiiko oluteekateeka mungeri ey’enjawulo yebazizza banna Buluuli okuwagira abaana babwe ekintu ekyasobozesa Omwana wabwe Nambaziira Joan okusitukira mu mpaka z'Obwannalulungi wa Buganda yonna.
Omukolo gwabadde mulungi nnyo era gwetabiddwaako abantu ba Kabaka bangi nnyo ddala.
Cc: @TourBugandaUG @NajibSsekikubo @misstourismUga @JulzKagwa
#TourBuganda
#MissTourismBuganda2026
#BugandaYiyo_BugandaYange

Olandria “Catwoman” Carthen🐈⬛ #OWEEK

OKUSOMOZEBWA OKWENJAWULO OWEEKITIIBWA JOSEPH MULWANYAMMULI SSEMWOGERERE KWEYANGA NGA YE KATIKKIRO WA BUGANDA 1994 - 2005
#KatikkiroMayigaAt13
#BYBYGaziyaOkumanyaKwo
#BugandaYiyo_BugandaYange
https://t.co/eV33GKFbQP
TTABAMIRUKA WA NKOBAZAMBOGO MU GGWANGA LYONNA
Olunaku lw'eggulo nga 23/04/2026 ekibiina kya Baganda @nkobazambogo_u mu Ggwanga lyonna bafunye ttabamiruka wabwe nga yatudde mu Bulange Mmengo era nga Minisita w'Abavubuka, Emizannyo n'Ebitone Oweekitiibwa @robert_serwanga ye yabadde omugenyi omukulu.
Ebimu kwebyo ebyasososwaziddwa mu ttabamiruka ono y'ensonga y'okukunga bannankobazambogo bonna okuvayo mu bungi okujjumbira enteekateeka ya #MissTourismBuganda2026 akulembeddwamu @TourBugandaUG. Era ekiteeso nekiyisibwa Nkobazambogo okukuunga abayinzi mu zi University zabwe okuvayo okuvuganya wamu n'okuwagira abo abagenda okuvuganya.
Minisita yategezeza abavubuka ba Nkobazambogo nti kikulu nnyo okuvangayo ne bakulembera munteekateeka nga #MissTourismBuganda2026 nendala kubanga omulembe Ssaabasajja Kabaka yagukwasa Bavubuka. Nabwekiyo buli nteekateeka yonna wano mu Buganda erimu abavubuka balina okukimanya nti yabwe era basanidde okugyetabamu olwo lwe banasobola okuza Buganda ku Ntikko.
Yee Ssentebe w'olukiiko oluteekateeka #MissTourismBuganda2026 Mw. Kyagulanyi Shafik yalambuludde kunteekateeka eno era nasaba bannankobazambogo okugenda bavuganye mu Masaza gabwe basobole okutwala engule ya #MissTourismBuganda2026 nga 12/06/2026 ku Hotel Afrikana.
Bannankobazambogo nga bakulembedwa Ssentebe wabwe Mw. @MosesSemujju1 beyamye okwongera okukunga bannabwe bonna mu University okuvuganya ku bwa Nnalulungi w'Ebyolambuzi mu Buganda. Era basubiza nti buli mwaka bagenda kwetaba butereevu munteekateeka eno.
#MissTourismBuganda2026
#BugandaYiyo_BugandaYange

OKUTUNDA KABAKA BIRTHDAY RUN KITS 🏃♂️
Olwaleero Oweekitiibwa Israel Kazibwe Kitooke Minisita w'Amawulire mu Bwakabaka bwa Buganda akwasiza Ekibiina kya Buganda Yiyo Buganda Yange Emijjoozi gya #KabakaBirthdayRun2026 okugitusa ku bantu ba Ssaabasajja Kabaka munkola ey'omulembe omujja eya Online.
Oweekitiibwa akunze abantu ba Kabaka abatalina budde kugenda kunonya Kits okukozesa Omukisa guno buli muntu yefunire omujjoozi gwe nga obudde bukyali nga bayita mu Buganda Yiyo Buganda Yange.
Abagala Emijjoozi mututukirire ku 0709900274 okufuna Kit yo Kati.
Oba join KABAKA BIRTHDAY RUN KITS WhatsApp group https://t.co/rTHUiKCYVZ
https://t.co/47TgDj6pOY
#KabakaAt71
#KabakaBirthdayRun2026
#BugandaYiyo_BugandaYange

Oweek @KazibweIsrael akunze abantu ba Kabaka abatalina budde kunonya Kits okukozesa Omukisa ogubaleteddwa @BugandYiyoYange buli muntu yefunire omujjoozi gwe kati
Oweek okwogera bino abadde atukwasa kits okuzituusa ku bantu ba Kabaka munkola ey'omulembe omujja eya Online.....

"Oweek asanyukidde nnyo Workplan yaffe. Era atusabye okwefumiitirize ku bubaka bwa Kabaka obwa Eid El-Fitr obukwata ku mitimbagano" ~ @BugandYiyoYange
https://t.co/277xp6yUwr
EKIBIINA KYA @BugandYiyoYange KIKIIKSE EMBUGA OKWANJULA MINISITA WORKPLAN YA 2026.
Ab’ekibiina kya Bannamutimbagano aba “Buganda Yiyo Buganda Yange” banjudde enteekateeka yaabwe ey’omwaka 2026 eri Minisita w’Amawulire, Okukunga Abantu era Omwogezi w’Obwakabaka Oweek. @KazibweIsrael
Olwaleero nga 18 Mugulansigo 2026, ekibiina kya Buganda Yiyo Buganda Yange bakiise Embuga okwanjulira Minisita w’Amawulire enteekateeka zaabwe mu omwaka guno 2026 omuli; enteekateeka y'okwekulakulanya nga EKITTAVVU ekigenda okutandikibwawo, enteekateeka engenderere okukunga bannamutimbagano okujjumbira enteekateeka z'Obwakabaka nga #KabakaBirthdayRun2026, Amatikkira, Oluwalo n'endala nyingi, okulambula Buganda wamu n'okulambula Obutaka bwe Bika, okuzimba empuliziganya ne bannamutimbagano okuyita mu X Space wamu ne Pulogulamu ya GAZIYA OKUMANYA KWO, okukuba enkiiko zaabwe ku mutimbagano nga zikungaanya abantu ab’enjawulo nga bakubaganya ebirowoozo ebizimba Obwakabaka, okukulakulaanya ekittavu kyabwe, okutandiikawo pulojekiti ez’enjawulo ne bammemba baabwe abawangalira ebweru w’eggwanga (diaspora chapter).
Oweekitiibwa mu bubaka bwe asabye bannakibiina kino Buganda Yiyo Buganda Yange okwefumiitiriza ennyo ku bubaka bwa Ssaabasajja Kabaka obwa Eid El-Fitr 2026 mw'asabidde abavubuka okukozesa obulungi emitimbagano.
Oweek. Kazibwe asanyukidde nnyo enteekateeka yaabwe ey’ekittavu n’abakubiriza okulabira ku bibiina nga CBS PEWOSA engeri gye byatandikamu okutuuka kati nga bisitudde n’ebizimbe ebirabwako era agamba nti kino kye kimu ku bintu ebigenda okubayambako okwekulakulaanya mu bulamu bwabwe.
Oweekitiibwa yebazizza nnyo omulimu omunenne ogukolebwa ekibiina kino naddala nga bayamba abantu ba Ssaabasajja Kabaka abakozesa emitimbagano okumanya amawulire amatuffu agava embuga.
Minisita ng'amaliriza ajjukiza bammemba b'ekibiina kino nga bakozesa emitimbagano okumanyisa n'okunyweza Ensonga za Buganda Ssemasonga Ettaano (5).
Ssentebe w'ekibiina kino yeyamye mumaaso ga Minisita nti ekibiina kya Buganda Yiyo Buganda Yange kigenda kwongera amaanyi munteekateeka ezigenderera okusitula ekitiibwa kya @BugandaKingdom_ ku mikutu emigatabantu gyonna gyonna. Era ku lw'ekibiina yebazizza nnyo Oweekitiibwa okulambika obulungi ekibiina kino.
#KabakaAt71
#KabakaBirthdayRun2026
#BugandaYiyo_BugandaYange

Njozaayoza nnyo Muganda wange, #Oweek. Dr. Ronald Mulondo (Kkangaawo) olwobuwanguzi bwatuseeko obwa "Doctorate." Nze nga Ssentebe w'akakiiko k'ebyenjigiriza mu Lukiiko lwa Buganda, mmwenyumirizaamu era nneesunga okwongera okugabana ku bukugu bwe. Mmwebaza okubeera ekyokulabirako

@Bagandatweepsss @KazibweIsrael @BugandYiyoYange Tweyanziza nnyo Oweekitiibwa okutulambika obulungi.
@Bagandatweepsss @KazibweIsrael @BugandYiyoYange Oweekitiibwa @KazibweIsrael tweyanziza nnyo tweyazenge
OBUBAKA OBUYOZAAYOZA OWEEK. ISREAL KAZIBWE KITOOKE @KazibweIsrael
(Minisita w'Amawulire, okukunga era Omwogezi w'obwakabaka)
Oweekitiibwa ng'ekibiina kya @BugandYiyoYange Yange twegatta ku bantu ba Ssaabasajja
Kabaka okukuyozaayoza okutuuka ku mazaalibwago leero nga 4th Gatonya 2026.
Oweekitiibwa. Tusiima Katonda olw'obulamu bwo n'obuweereza obulungi bw'okola mu
Bwakabaka bwa Buganda.
Naye okusinga byonna, tukwebaza nnyo olw'okwagala, n’obwesigwa bwotadde mu kibiina kya "Buganda Yiyo Buganda". Ekitusobozesezza okuweereza Ssaabasajja Kabaka nga tuli banywevu.
Oweekitiibwa, okukkiriza kwo nti naffe tulina ettoffaali lye tuyinza okwongera ku nkulaakulana y’Obuganda kitwongeddemu amaanyi mangi nnyo era kiwadde abantu ba Ssaabasajja Kabaka abakozesa emitimbagano obuvumu nti nabo weewaawo Obwakabaka
bubamanyi mu buweereza bwabwe bwe bakola.
Nga Minisita wa Ssaabasajja Kabaka tukwebaza bulijjo okuwagiranga enteekateeka zonna ezisitula Obwakabaka. Ng'oggyeeko Buganda Yiyo Buganda Yange tulabye bannaffe abalala nga @Bugandakwaffe wamu n’abantu ba Buganda abafuba okulaba nga Buganda esigala waggulu ng'otambula nabo mu ngeri ey’enjawulo. Weebale nnyo Oweekitiibwa.
Obwesigwa bw'otulaze ky'ekintu ekisinga obulungi era Oweekitiibwa twagala okukusiima, weebale nnyo weebalire ddala.
Okusaba kwaffe kwe kunno:
1. Katonda ayongere okukusanyusa era akuwe ebisanyusa omutima gwo.
2. Omutonzi akuwe obulamu obulungi n’obugagga obungi.
3. Katonda Akwongere amagezi n’obuvumu mu buweereza bwo eri Ssaabasajja Kabaka.
Weebale okwagala ekibiina Buganda Yiyo Buganda Yange. Weebale kuba kyakulabirako kirungi gyetuli bannamutimbagano
Ssaabasajja Kabaka Awangaale
https://t.co/G5fQeRZx46

ZM is your Orientation 2017 Station! FREE stuff and the ticket to the hottest events around campus. More details coming this month! #oweek

Trends for you
Most Popular Users

Elon Musk 
@elonmusk
239.7M followers

Barack Obama 
@barackobama
118.6M followers

Cristiano Ronaldo 
@cristiano
114.3M followers

Donald J. Trump 
@realdonaldtrump
111.7M followers

Narendra Modi 
@narendramodi
106.9M followers

Rihanna 
@rihanna
98.6M followers

NASA 
@nasa
92.1M followers

Justin Bieber 
@justinbieber
91.7M followers

KATY PERRY 
@katyperry
89.9M followers

Taylor Swift 
@taylorswift13
83.9M followers

Lady Gaga 
@ladygaga
75.4M followers

Virat Kohli 
@imvkohli
73.3M followers

Kim Kardashian 
@kimkardashian
70.8M followers

YouTube 
@youtube
68.6M followers

Neymar Jr 
@neymarjr
66.3M followers

Bill Gates 
@billgates
65.1M followers

Selena Gomez 
@selenagomez
63M followers

The Ellen Show
@theellenshow
62.1M followers

CNN 
@cnn
61.7M followers

X 
@x
60.6M followers
























