Ssentebe Kawuma Samuel owa St. Lawrence University ne bannankobazambogo abawangaalirayo beetabye mu bulungi bwansi nga beetegekera omukolo gw'okutongoza SIMBA OMUTI, KUUMA BUGANDA mu bbendobendo lya Nnabulagala.
Olunaku lwa nkya wali ku St. Lawrence University nga tutongoza okusimba emiti mu bbendobendo lya Nnabulagala nga akabonero akokwongera okukuuma obutonde bw'ensi.
Akabimbi akatono kakira ekyosi. Eyo ye nsonga lwaki ffe tugamba nti ssimba omuti gumu olabe enjawulo mu bitundu by'owangaaliramu ku birala ebyesuuliddeyo ogwa Nnagamba nga batema tebazaawo miti egyo.
KAMU KAMU GWE MUGANDA.
Tuyozaayoza muweereza munnaffe Ssentebe wa Kampala International University ate nga ye Ssaabawandiisi wa Nnabulagala region olw'okutuuka ku mazaalibwa ge agomulundi (emyaka gikyesirikidde). Twebaza Mukama olw'obulamubwe saako n'okutuyunga ku mukyala omukozi nga ye.
Kino tetukitwala nga ekitono okulaba abavubuka bannaffe nga basobola okuwaayo obudde bwabwe okuwuliriza obubaka obubazimba okuyita mu nkuŋŋaana za Nkobazambogo yonna gyetugenda. Aba UIAHMS mwatukoze obulungi obugambika ffe nga olukiiko lwa Nnabulagala.
Tukubye jjebbe.
Olwavudde mu lunaku lwa Nkobazambogo mu ggwanga engatto tetwazigyemu ne tusiyaguka okugenda ku kabaga ka ccaayi akabadde kategekeddwa ku UIAHMS nga tukulembeddwamu Ssentebe Bukenya Paul.
Taata Nnabulagala awamu ne bannabbendobendo nga bakwasibwa ensiimo y'okubeera ebbendobendo erisinze okukola emirimu gya Nkobazambogo mu mwaka gwa 2026 era ensiimo yatukwasiddwa Owekitiibwa Ssaalongo Robert Sserwanga nga 17/09/2026 mu bimuli bya Bulange.
Ffe nga banna Kyambogo tuli basiimu nnyo olwa mukulembeze munnaffe KEEYA ERIC olwobuwanguzi bweyatuseeko nga Omumyuka w'omukubiriza w'olukiiko oluggya olwa NEC olwekkumi n'omwenda. Yogaayoga ssebo musomesa tukimanyi tukiikiriddwa bulungi ne ku mulundi guno.
Buwanguzi bwokka.
Twongera okukuba omulanga ogutakungula nga tubayita mwenna bannankobazambogo abawangaalira mu bbendobendo lyaffe okujja okuvugannya mu mpaka z'olulimi lwattu Oluganda ezitegekeddwa wali ku Nakawa Vocational Training College.
TUBALINZE
Ssentebe omulonde era eyakubye ebirayiro bye okukulembera bannankobazambogo ba Kampala International University Mukyala Namugga Harriet Sarah nga ali wamu ne Omukwanaganya w'abavubuka mu bwakabaka bwa Buganda Owekitiibwa Hassan Kiyemba era nga ye yabadde omugenyi omukulu.
Ku ddyo, Ssentebe wa Nkobazambogo Nnabulagala region nga ali ku kabaga ka ccaayi akategekeddwa ku Butabika school of Psychiatric eggulo ku Wamunyi nga 05 Mutunda 2026.
Ssentebe Ssemukuye Kevin Grace webale nnyo kulemberamu bano ekisanja ekiwedde ate era okuwaayo obuyinza eri Ssentebe omuggya Mw. Ssenyonjo Timothy Daniel Akalyamaggwa awamu n'olukiiko lwonna mu kino ekisanja ekitandise nga 6/06/2026.
Wangala Nnyaffe Buganda.