Gavumenti erabuddwa nti singa tewabaawo kyekola ku bannansi ba China abagenda baggulawo amaduuka mu bitundu eby'enjawulo, abasuubuzi bannauganda baalokedde ekubivaamu kubanga sikyangu kyakuvuganya na bachina.
Ab’obuyinza mu Disitulikiti y’e Namayingo basaanyizzaawo ebitundu ebiwereradala 1,820 ebikozesebwa mu nvuba emenya amateeka ebyaboyebwa mu kaweefube w’okufufuggaza envuba embi mu bitundu by’ennyanja Victoria
Olwaleero kwekutuzibwa kwa Edward Rukidi Nyabongo I ng'Omukama omujja ow'Obukama obwa Tooro ogumanyiddwa nga ogw'Empango. Olunaku lw'eggulo yatandise okukola obulombolombo obw'enjawulo omwabadde n'okutambula olugendo okuva mu e Ruheesi okutuuka e Rwengooma.
Ng'olunaku olwa leero abantu mu Obukama bwa Tooro bakeeredde mukeetalo k'okutuuza Omukama wa Tooro omugya Edward Rukidi Nyabongo asooka, obukulembeze bw'ekibiina ki Forum for Democratic Change FDC buyozayoozeza omukama omugya olw'okutuuka ku kitiibwa kino.
Omuyaga gu 'nor'easter' mu kibuga New York ekisangibwa mu America guleese amataba, amasanyalaze gavuddeko, entambula n'esannyalala 'ebisaawe by'omupiira biggaddwa. Kigambibwa omuntu omu afiiriddemu mu mataba gano
Omusango gwa Hon. Cissy Namujju ne Dr. Sarah Nkonge kkooti enkulu e Masaka egw'ongezaayo okutuusa nga 2 omwezi ogujja. Kinajjukirwa nti Dr. Sarah Nkonge yaddukira mu kkooti ng'awakanya obuwanguzi bwa Hon. Cissy Namujju ku kifo ky'omubaka omukyala olwa disitulikiti y'e Lwengo.
Abakugu mu bbanka n’ebyenfuna baavuddeyo nebategeeza nti bannayuganda bangi abakyatya okukuuma sente zabwe mu banka n’ebitongole ebirala eby’eby'ensimbi olw'obutaba na bwesigwa nga byogedwa mu lukiiko olwaatudde ku White Horse Inn Hotel mu Disitulikiti y’e Kabale.
Ono ye Nsamba Vincent amanyiddwa agambibwa okuviirako okufa kwa Moses Matovu. Akawungeezi k'eggulo poliisi yamukutte bweyabadde mu bitundu by'e Nansana. Okunoonyereza kugyagenda mu maaso.