Nga 4 Muwakanya 1991, bakulu baffe batandika ekibiina ekyaffe kinno ekya Baganda Nkobazambogo Students' Association (BANKOSA) era ne batongoza ssemateeka wakyo ku olwo wali e Makerere
Giweze kati emyaka 35 nga ekibiina kinno kibangula n'okuzimba abakulembeze
#NkobazambogoAt35
Emyaka 33 nga Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II atudde ku Nnamulondo alamula Obuganda
Amatikkira 33
: Ffenna ku @watotochurch ku Lwokutaano luno.🥳
#Amatikkira33
📖AKATABO ZINUNULA OMUNAKU
Cc: @BugandYiyoYange
ESSULA 15: TUTTA OMUKAGGO NE MIREMBE
EBYEWUUNYISA nga bwe bitaggwa mu nsi, na kino kyanneewuunyisa nnyo. Olwali olwo nga tugenda wa Muyodi olwegguloggulo tuwayeemu era tweyongere n’okulwana.
Tuba tuli eyo nga Meeya, Mirembe ne Najja bagobye. Twabalabira eri nga tubaaniriza nga tubalamusa naye ekyasinga okunneewuunyisa kwe kulaba nga Mirembe ne Meeya baali bamanyiddwa nnyo mu maka ago kye nali sisuubira kubanga twali tetubasangangayo wadde omulundi ogumu ate nga ne Muyodi taboogerangako, okuggyako luli lwe namunyumiza oluyombo lwa Mirenbe ne Kagulukankwale era ne lwe yannyingizaamu ekirowoozo ky’okuyiga okulwanyisa amafumu n’engabo.
Emboozi eba egudde amakerenda, Mirembe kwe kumbuuza gye nali mbulidde era nange okwandibadde ng’okumwanukula, ne mmubuuza ekibuuzo kye kimu. Ng’asiriikiridde okumala akabanga n’anziramu nti,
‘Nali gyendi. Ye ombuuliza ki? Manyanga wagamba nti nkwesibako so nga ggwe tonjagala.’ Kino kyanzigya enviiri ku mutwe era kyansuula wala kubanga nali sikyogerangako. Nayagala mmubuuze eyamubuulira ekyo naye teyaŋŋanya n’ankwata nakyo amavumbavumba nti, ‘Nedda teweegaana. Bw’onoova awo nga weegaana nti tolina na muwala mukwano gwo ludda eyo,’ n’asongayo olunwe nga bw’abiina ensige.
Ne mmunnyonnyola nti
omuwala taliiyo era ebigambo biri nze sibyogeranga. Ye kwe kuddamu nti, ‘Kale kale, kiwedde tunyumye birala. Ddala kino kyankeeta nnyo. Kye nava njagala nnyongere okumunnyonnyola naye annyinyonnyole tutegeeragane ku nsonga eyo.
Mba nnaakoogerayo ekigambo
kimu n’aŋŋamba nti, ‘Ssebo
nno amalusu go gagendera ki? Nze ebyo nabimaze sikyabiddamu, leka n’okukusegulira nkusegulire,’ n’asituka n’afuluma.
Kino kyannema
okugumiikiriza. Aba atuuka mu luggya ne mmulumba ne mmukwata emikono mu biseke ne mmunyeenya, ye nno ng’olwo atunudde ku ttaka. Ne mmusaba antunuulire naye n’asitula mpola amaaso ge okutuusa lwe gaasisinkana agange n’ayogera mu ddoboozi erisinga obukambwe nti, ‘Mwana wattu nno nta ojja kummenya emikono era laba giigino girungudde, genda eri mu mikwano gyo nze nvaako. Naye abasajja temuli bantu era temulina mwoyo!’
Kwe kumubuuza oba mu mazima yalowooleza ddala nga simwagala. Okwandibadde okunziramu, yansaba nneme kumuteganya kubanga yali amanyi byonna anti ng’asirika naye amanya’. Eyannimirira, enkumbi yalina njogi era n’ebigambo eyabirunga omunnyo yagunoza.
Mba nsigadde kumira mangota, Meeya kwe kujja n’annyamba nga bw’ajuukamu akatono nti, ‘Bannange, ggwe lwaki mwannyinaze omuwaayiriza nti takwagala? Nze mmanyi akwagala nnyo mpozzi ggwe tomwagala. Ko Meeya, ‘Nze! Ye nno ggwe wandigambye otya? Enkima esala ogw’ekibira? Ddala mwannyoko ono tanjagala.
Meeya: Bannange, akwagala oyagala akwagale atya, akukolere ki era akuwe ki?
Wano ne Mikolo we yayingirira mu mpaka kubanga naye yali yazze dda ng’ayimiridde awo ku bbali n’agamba Meeya nti, ‘Nedda, oli tomuzibiikiriza buzibiikiriza, ndowooza era waliwo ensonga emwogezezza ekyo.
Mirembe: Ggwe wamma ssebo weeri.
Zinunula: Nsaba ekintu kyonna ky’oyagala olabe oba nnaakikuwa olyoke otegeerere okwo oba nkwagala oba sikwagala.
Ye nga tannaba na kukisaba, nze olw’okwagala okumukakasa nga bwe mmwagala, saalowooza na ku ky’anansaba wabula nakkiriza bukkiriza nga bwe nja okukimuwa.
So nno kiba kiseera kirala, ndowooza sandikkirizza kigambo kya buzibe bw’amaaso kityo, naye mu kiseera kino saalina kirala kya kumponya.
Mirembe kwe kutegeeza nga bw’atajja kweteganyiza bwereere kusaba kantu konna era nga nange bwe sisaanidde kwemalamu ng’ate mmanyi nti sisobola kumuwa ky’anansaba. Nze ne nnyongera okuggumiza obweyamo bwange.
Yalaba nnyongedde okukikakasa n’aŋŋamba nti, ‘Jjangu tugende wali awali abakulu nkikusabe nga nabo balaba, naye onooswala bwe kinaakulema.’ Bwe twatuuka awali Muyodi ne Kulwawo, Mikolo n’annyonnyola empaka nga bwe ziri era nga bwe baali balindirira okuwulira ekisabibwa.
Mirembe kwe kugamba nti; ‘Kale oba anjagalira......1/2
#BYBYGaziyaOkumanyaKwo
#BugandaYiyo_BugandaYange
History made 👑✨ For the first time ever, Gombolola Nagojje has produced a Miss Tourism Kyaggwe 2026. Congratulations to Nakazzi Erina Nagojje Musaale, crowned tonight at Governor’s Hotel, Mukono.
Walking through the compound that houses the Kasubi Tombs, the main path leads to what should be an entrance. But it ends at one of the layers of thatch covering the 25-foot structure known as Muzibu Azala Mpanga. It looks like a giant basket turned upside down. If it weren’t for the rows of shoes laid neatly outside, you’d never know there was a way in. https://t.co/VWEBuVooHC
Katikkiro Charles Peter Mayiga avumiridde ebikolwa by'okukwata abantu ebisusse mu ssaza Butambala by'agambye nti bitadde abantu ba Kabaka ku bunkenke, era asabye wabeewo okutabagana okusinga okusika omuguwa nga Kabaka bwe yalagidde mu bubaka bwe obwa Eid.
Kamalabyonna bino abyogeredde Butambala bw'abadde yetabye mu kusaala Eid Al-Fitr mu muzikiti gw'e Kabasanda. Asabye wabeewo okutabagana okusinga okusika omuguwa nga Kabaka bwe yalagidde mu bubaka bwe obwa Eid. Al-Fitr 2026.
Ebisingawo 👇🏾
https://t.co/nx7WJqYEVf
Okusaala Eid El-Fitr ku muzikiti e Kibuli.
Abaddu ba Allah bakuŋŋaanidde ku muzikiti e Kibuli okwebaza Allah okubawa ekiseera ky'ekisiibo awamu n’okwetaba mu swalah ya Eid El-Fitri.
Esswala yetabiddwako; Omulangira Dr. Kassim Nakibinge, Omumyuka Asooka Oweek. Hajj Twaha Kaawaase Kigongo era ono y'asomye obubaka bwa Ssaabasajja Kabaka eri Abasiraamu abakungaanidde e Kibuli.
Oluvannyuma lw'esswala, Jjajja w’Obuyisiraamu Omulangira Dr. Kassim Nakibinge Kakungulu akyaziizza abaddu ba Allah mu maka ge okubasiibulula.
Ba Minisita ba Kabaka; Oweek. Ahmed Lwasa, Oweek. Mariam Mayanja Nkalubo nabo babaddewo mu kusaba kuno.