This is the official twitter account of Buganda Nnyaffe.
Omulimu omukulu ogw'omukutu guno, kunonyereza ku Nnono, Obuwangwa wamu n'Obulombolombo bwa Buganda.
Buganda Royal Institute of Business and Technical leero ekyusa olukiiko lwayo olufuzi (Governing Council).
Omumyuka Asooka owa Katikkiro Owek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo y'akulembeddemu omukolo gw'okusiima ababadde ku lukiiko luno n'okutuuza olukiiko oluggya. Awerekeddwako Minisita w'Ebyenjigiriza mu Buganda Owek. Choltilda Nakate Kikomeko.
Ssentebe awummula ye Dr. Saturninus Kasozi Mulindwa ate Ssentebe omuggya ye Eng. Julius Mulumba.
Omukolo gw'okusiibula olukiiko olukadde n'okwaniriza olupya gutegekeddwa ku ttendekero e Mengo e Kakeeka.
Katikkiro Charles Peter Mayiga yeggasse ku basiraamu mu muzikiti gw'e Kabasanda mu Butambala mu kusaala esswala ya Eid El-Fitr.
Katikkiro ayaniriziddwa Katambala Owek. Sulaiman Magala ne ba Sheikh abakulu ku muzikiti guno.
#EidMubarak
Okusaala Eid El-Fitr ku muzikiti e Kibuli.
Abaddu ba Allah bakuŋŋaanidde ku muzikiti e Kibuli okwebaza Allah okubawa ekiseera ky'ekisiibo awamu n’okwetaba mu swalah ya Eid El-Fitri.
Esswala yetabiddwako; Omulangira Dr. Kassim Nakibinge, Omumyuka Asooka Oweek. Hajj Twaha Kaawaase Kigongo era ono y'asomye obubaka bwa Ssaabasajja Kabaka eri Abasiraamu abakungaanidde e Kibuli.
Oluvannyuma lw'esswala, Jjajja w’Obuyisiraamu Omulangira Dr. Kassim Nakibinge Kakungulu akyaziizza abaddu ba Allah mu maka ge okubasiibulula.
Ba Minisita ba Kabaka; Oweek. Ahmed Lwasa, Oweek. Mariam Mayanja Nkalubo nabo babaddewo mu kusaba kuno.
Twebaza Katonda ku lwa bannaffe Abasiraamu abamazeeko okusiiba omwezi gwa Ramadhan, mbakulisa okutuuka ku lunaku lwa Eid El-Fitr.
Leero nneetabye mu kusaala esswala ya Eid mu muzikiti gw'e Kabasanda mu Butambala okubeera wamu n'abaddu ba Allah mu kukuza olunaku luno.
Ssaabasajja Kabaka atuuse mu kisaawe e Nakivubo era asiimye n'awuubira ku bantu be abazze okubaawo ng'empaka zino #MasazaCup2025 ziggalwawo
#MasazaCupFinal2025