Ekibiina kya Baganda on Twitter ekimanyiddwa nga BUGANDA LUGANDA kyatandikibwawo abaana ba buganda abali ku mu'yungagano gwa twitter Ela twagala okubategezza kati eno ye " official page yaffe" muganda munaffe tweyungeko olwaleero☺️☺️🤝
Linda kiggweyo…. Gula kati omujoozi gwo ogw’emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka ku 25,000 zokka weewale ogukuseera ku ssaawa esembayo #KabakaBirthdayRun2026
I extend my heartfelt congratulations to the She Cranes upon their victory in the Celtic Cup in Scotland. Such are the moments when am proud of being Ugandan!!! 😊🙌🏿👊🏾. CPM
Ababaka ba Paalamenti abava mu kabondo ka Buganda baleese amakula ga Ssaabasajja Kabaka mu kujaguza amatikkira ge ag'omulundi ogwa 32.
Omuwanika w'akabondo kano era omubaka we Busujju Hon. Lukyamuzi David Kalwanga, kulw'Ababaka abalala y'atuusizza amakula gano eri Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu n'ensonga za Buganda ebweru, Oweek Joseph Kawuki.
Omubaka Kalwanga agambye nti buno buvunaanyizibwa bwabwe era kibakwatako butereevu okuvaayo nebawagira enteekateeka eno era basazeewo okuwaayo ettu lino nga bajjukira ebyo Kabaka byakoledde Obwakabaka mu myaka gino.
Minisita Kawuki ayanirizza Omubaka ono ku lw’Omumyuka ow’Okubiri owa Katikkiro Oweek. Robert Waggwa Nsibirwa n'abeebaza okwewayo okwetaba mu matikkira gano n’okutuukiriza obuvunaanyizibwa obw’okwetaba mu nteekateeka z’Obwakabaka.