Top Tweets for #bugandayiyo_bugandayange
Ayambalira Kabaka naffe tumwambalire, anti anaakuggya emize aggeya nyoko ng'owulira."
#BugandaYiyo_BugandaYange 📌📌📌
OBUVUMU SSI KUVUMA OBA KUVOOLA.....NEDDA!!!
Okunyooma, okuvoola, okuvuma n'okulengeza ssi bwe buvumu. Obuvumu obwamazima buli mu kukuuma obuwangwa bwaffe, okussa ekittibwa mu bakulembeze, ennono zaffe n'okuzimba Buganda ey'obumu n'emirembe. Ssabasajja Kabaka awangaale.
An attack on the Kabaka is an attack on all of Buganda. We stand united, vigilant, and unwavering. 📌
Cc: @PoliceUg @JudiciaryUG
#BugandaYiyo_BugandaYange
Tweyanziza nnyo tweyazenge
#BugandaYiyo_BugandaYange
BANDI NE BWEREERE
Kabaka w’e Bunyolo yalonda Katikkiro we, ng’ayitibwa Bandi ne Mugema we, ayitibwa Bwereere, bawerekereko Kimera, agende alye Obuganda. Tebaddayo Bunyolo. Bwe baatuuka kuno, baaganja nnyo wano e Buganda olw’okubaleetera Kabaka. Buli lwe wayogeranga ku muntu eyajja ne Kimera, nga bakugamba nti “va ku muntu wa ‘bandi’ ate munne yasinga kuganja mu baana ng’abaagala nnyo, era baamukaabiranga nnyo. Buli omwana lwe yakaabanga, nga bagamba nti akaabira “bwereere.”
🔵 Lindirira ekitundu ekiddako 👌
#BugandaYiyo_BugandaYange

Kkiririza mu busobozibwo era nga omanyiddwa mukkyo nti n'abalala basobola okweesiga okukigguza kubanga wafuuka mukugu mukkyo.
Abaffe, omanyiddwa kukolaki obulungi.
#BugandaYiyoBugandaYange
#UOXBugandaRegion

31st October lugenda kubeera Public Holiday mu Uganda, tewagenda kubeera kulongosa kwonna. Amakubo gonna gagenda kubeera gatunudde mu kisaawe e Wankulukuku ku #MasazaCupFinal2025 #MasazaCup🥰
#BugandaYiyo_BugandaYange
BUGANDA YEGWE, NANGE📌
Obubaka buno mu butuuse eri oyo mbu simanyi Ibrahim Musana
📍 Buganda Yiyo Buganda Yange
#bugandayiyo_bugandayange
Tuzemu okulaba Pulesha nga avayo okulumba n'okuvvoola Kabaka waffe mu ngeri gye tuvumirira ennyo.
Gyebuvuddeko bwe twavayo ne tusaba atwalibwe mu kkomera, bangi baavayo nga bagamba nti ono mulalu era nti by'akola tabitegeera. Era twalaba abamu ku bo abeeyita abalwanirizi b'eddembe nga bagenda mu kkooti okusaba omulamuzi amuyimbule kubanga mulalu.
Ffe twagala okubategeeza nti mu Buganda tulina olugero olugamba nti "OMUTAMIVU TABAAGA MBWA." Abaffe, twebuuza: omulalu oyo lwaki bwe bamujja mu kkomera teyatwalibwa mu ddwaliro lya balalu e Butabika? Era lwaki bw'atuuka okugwa eddalu, eddalu lye aligwira ku Kabaka waffe yekka?
Nga abantu ba Kabaka abeegattira mu kibiina kya "@BugandYiyoYange ", tetugenda kukkiriza muntu yenna kuva eri nga agwira eddalu ku Kabaka waffe. Okulumba Kabaka oba olumbye Obuganda bwonna, era okutandika okulalukira ku Kabaka waffe oba olalukidde ku bantu ba Ssaabasajja Kabaka bonna.
Tusaba @GovUganda @PoliceUg eveeyo ebereko ky'ekola ku mukulu oyo, era ekakase nti tagenda kuddamu kulalukira ku Kabaka waffe! 📌.
#BugandaYiyo_BugandaYange

Olina kyoyagala okumanya ku Buganda, ebyafaayo byaffe, obuwangwa, empisa ne nnono zaffe?? Tubaniriza mwenna ku Buganda Heritage and Tourism Board mu tterekero lyebitabo musome, muyige, mutegeere. Toyogera byotategera, bya njwanjwa oba byotamanyi nga BHTB weli..!
To have a stable Uganda....a stable Buganda is needed! Long live the King of Buganda.
# Buganda lwazi.....# Buganda ku ntikko.
Ayi Katonda kuuma Kabaka waffe ebbanga lyonna, Obwakabaka ate naffe otukuume nga tuli bumu! Obumu ge maanyi.....!
Olina kyoyagala okumanya ku Buganda, ebyafaayo byaffe, obuwangwa, empisa ne nnono zaffe?? Tubaniriza mwenna ku Buganda Heritage and Tourism Board mu tterekero lyebitabo musome, muyige, mutegeere. Toyogera byotategera, bya njwanjwa oba byotamanyi nga BHTB weli..!
KIMERA ALYA OBUGANDA
Omulangira Kalemeera yazaamira mu kubo ng’akomawo. Kabaka Ccwa Nnabakka bwe yamanya nga mutabani we baamukolera lukwe, n’anyiga era ne Walusimbi n’agobwa ku Bwakatikkiro, ne balonda Ssebwana ku Bwakatikkiro. Ccwa Nnabakka bwe yabula olw’obusungu, Obuganda bwasigala tebulina Mulangira alya Bwakabaka.
Ssebwana, Naŋŋoma ne Nnaabugwamu baali nga bakimanyi nti Kalemeera yaleka azadde omwana e Bunyolo, naye nga ne Winyi yali tamanyi nti mulangira.
Abantu bwe baakowa effugabbi lya Ssebwana, ate nga n’olugambo lwali luyise mu bantu nti Kalemeera yaleka azadde Omulangira, Nnakku e Gganda, nga ye muzaana oli ow’omukolo, ne Najjuka e Kireka, baasala amagezi agaggya Ssebwana ku ntebe. Nnakku yatuma Nnaabugwamu n’Abakulu b’ebika, okugenda okunona Omulangira e Bunyolo. Naŋŋoma ekyo olw’akimanya nti bakimye Omulangira, yagenda mangu e Bunyoro ewa Winyi balonde omu ku Balangira, agende alye Obuganda.
Winyi bwe yalonda Omulangira, Naŋŋoma n’amugaana, n’amugamba asindike Kamuwanda, era n’amutuuma erinnya Kimera, agende ameze Obuganda, ng’ajjukira olusoozi lwa jjajjaawe Kintu, Naŋŋoma lw’akuuma.
Nnaabugwamu yasanga Omulangira anaalya Obwakabaka bwa Buganda asimbuka okujja mu Buganda.
🔵Lindirira ekitundu ekiddako👌
#BugandaYiyo_BugandaYange

Obubaka bwa Lord Mayor wa @KCCAUG Omuloddi Ssaalongo @BalimwezoN ku mukolo gw'okujjaguza #BYBYAt4.
#BugandaYiyo_BugandaYange
@BugandYiyoYange Mwebale okuwayo okwogera kunsonga eyo, tusaba abakwatibwako naveyo nga ekiwundu tekinasamba ddagala
#BugandaYiyo_BugandaYange
Obubaka bwa Lord Mayor wa @KCCAUG Omuloodi Ssaalongo @BalimwezoN ku mukolo gw'okujjaguza #BYBYAt4.
#BugandaYiyo_BugandaYange
Buganda okulakulana, tetulinda Ssabasajja kujja ku ground.
Ffe nga abaana ba Buganda mulimu gwaffe okukola ekisoboka okuzimba ensi yaffe era nga tuyita mu @BugandYiyoYange tugezaako okutekawo enjawulo nga tuyita mu buweereza bwaffe.
#BYBYBulungibwansi
#BugandaYiyo_BugandaYange
BUGANDA YIYO BUGANDA YANGE
(19/10/2026)
Ssentebe wa Buganda Yiyo Buganda Yange, Omw. Munaawa Dan @Mwembugaoficial , agenyiwaddeko mu Ssaza Bulemeezi okutunulira obusobozi bw'okufunira essomero lya Kangawo Nursery School amazzi amalungi okuyita mu nteekateeka y'ekibiina ey'okukola Bulungibwansi mu masomero g'amabujje mu Bwakabaka bwa Buganda. Nga wano ekibiina kitunulira okugatta Omutindo ku by'enjigiriza wano mu Buganda.
Ssentebe yayaniriziddwa Omukubiriza w'Olukiiko lwe Ssaza, Omw. Ssenku Dan, akikiridde Omwami w'Essaza Oweek. Ronald Mulondo, era nga batambudde n'omukugu mu by'amazzi.
Bano balambudde ebifo eby'enjawulo omuli amazzi, okwabadde ne Bowa Vocational School, era nga wano bayaniriziddwa Omukulu w'essomero lino. Bw'abadde abayaniriza, asanyukidde nnyo enteekateeka eno era bw'atyo ne yeeyama nga essomero okutambula n'ekibiina kino obulungi mukawefube w'okufunira KANGAWO Nursery School amazzi amayonjo. Mu kifo ekirala ekituukiddwako, abakulu abavunaanyizibwa ku kifo kino tebabaddewo.
Ku lwa Kangawo, Omukubiriza yeebazizza ekibiina kya Buganda Yiyo Buganda Yange okulaba nga bavuddeyo okukwasizako Ssaabasajja Kabaka wamu n'abantu be okulaba nga bafunira abasomi b'essomero lino amazzi amayonjo. Bw'atyo akoowodde abantu abalina omutima omulungi okukwasizako ekibiina kino okulaba nga enteekateeka eno etuukirira bulungi.
Omulimu guno gusuubirwa okutandika mu bwangu ddala oluvannyuma lw'akakiiko akakulemberamu omulimu guno okumaliriza okufulumya embalirira eyeetaagisa.

@BugandYiyoYange @KCCAUG @BalimwezoN #BYBYAt4
#BugandaYiyo_BugandaYange
Ssebo @Ntalebrian22 akatambi kano nkakuweereza, kalabe kona okamaleyo
Obubaka bwa Lord Mayor wa @KCCAUG Omuloddi Ssaalongo @BalimwezoN ku mukolo gw'okujjaguza #BYBYAt4.
#BugandaYiyo_BugandaYange
Last Seen Hashtags on Sotwe
anxiouspandaa
Seen from Mexico
balletporn
Seen from Spain
officecrush
Seen from United States
public jerk
Seen from Singapore
belaruscountryhumans
Seen from Turkey
kartaltravesti
Seen from United States
Maharashtra Crime
snapchat(***)****** filter:videos
Seen from United States
minichat()**filter:native_video()**filter:native_video()**filter:native_video()**filter:native_video
fushiita infidelity
Trends for you
Most Popular Users

Elon Musk 
@elonmusk
241.5M followers

Barack Obama 
@barackobama
118.8M followers

Cristiano Ronaldo 
@cristiano
114.5M followers

Donald J. Trump 
@realdonaldtrump
111.8M followers

Narendra Modi 
@narendramodi
107.1M followers

Rihanna 
@rihanna
98.7M followers

NASA 
@nasa
92.3M followers

Justin Bieber 
@justinbieber
91.8M followers

KATY PERRY 
@katyperry
90M followers

Taylor Swift 
@taylorswift13
84M followers

Lady Gaga 
@ladygaga
75.5M followers

Virat Kohli 
@imvkohli
73.5M followers

Kim Kardashian 
@kimkardashian
70.9M followers

YouTube 
@youtube
68.8M followers

Neymar Jr 
@neymarjr
66.5M followers

Bill Gates 
@billgates
65.3M followers

Selena Gomez 
@selenagomez
63.1M followers

The Ellen Show
@theellenshow
62.2M followers

CNN 
@cnn
61.7M followers

X 
@x
60.7M followers














